Isaiah 53:4-10


4 aMazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
5 bNaye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.
6Ffenna twawaba ng’endiga;
buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

7 cYanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
bw’atyo bwe yasirika.
8 dMu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
9 eNe bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 fSonga ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
Copyright information for LugEEEE